Isaiah 14:24-27

Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli

24 a Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,

“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
bwe kirinywera bwe kityo.
25 bNdimenyera Omwasuli mu nsi yange,
era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

26 cEno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 dKubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
Copyright information for LugEEEE